14/08/2025
*EBIVAAKO ABAANA OKWONOONEKA MU LUWUMMULA*
1.*EMIKWANO* Genderera emikwano omwanawo gy'alina,bwegiba ginywa enjaga oba nga babbi,n'omwanawo agikoppa.
2.*OKUPOKERA ABAANA OMUSIMBI* Omwana bw'omuwa ssente ezitalina kigendererwa akomekkerera azikozeemu ebitagasa omuli okugula ebintu eby'obulabe gyali mu butamanya.
3.*ESSIMU* Essimu si mbi,naye ekibi ate ennyo,kwekulekera omwana essimu awatali kulondoolwa olwo n'ataganjula buli kacica.
4.*TV* Omwana okulaba
Tv si kibi,naye singa tofaayo kumupimira by'alina kulaba ne by'atalina,olwo ajja kulaba bingi ebimukyusa okumuleetera ebikemo.
5.*ENNEEYISA Y'OMUZADDE* Abazadde abamu engeri gye beeyisaamu eyonoona abaana,gamba singa okyaza abasajja mu nju mw'osula n'omwanawo,ate ne mudda mu kwerigombera mu baana olwo bakoppa nabo nebagoberera.
6.*OKUKUZA ABAANA N'ETTIGI* Abazadde bangi tebaagala kubagambira ku baana,ekiruma naye yennyini omuzadde tafaayo kugunjula mwana ng'asobezza mbu amulaga mukwano!!! Kino kyonoona bwonoonyi mwana.
7.*ABEŊŊANDA* Weegendereze abantu b'olekera abaana bo wadde nga ba lugandalwo.Abaana bangi bava mu luwummula nga bali mbuto eky'ensonyi nga abazibatikka ba ŋŋanda olwo nebabibikkirira olw'okutya okuswala.
8.*EMIRIMU* Okukola kirungi naye oluusi kyonoona abaana anti abantu be basanga ku mirimu gye bakolera babakabawaza,kale twegendereze.
9.*EBITONE* Kirungi owagire omwanawo okutumbula ekitone kye naye faayo okulondoola ebikolebwayo gye babatendekera kuba abatendesi babeeyambisa,londoola omwanawo.
10.*OKUBA NGALOBUNANI* Omwana buli bw'atuula awaka nga talina mulimu gweyeenyigiramu kibi,ayoze ebintu,engoye,mutwale abeeko by'ayiga mu luwummula eg,ict,okutunga,eddiini,okusoma kwonna
*Mbaagaliza olunaku olulungi! Mirembe!