02/09/2026
Abaami ba Kabaka ab’e ggombolola Mumyuka Mpenja ne Ssaabawaali Kyegonza basabiddwa okusitula omutindo gw'obuweereza bwabwe eri Kabaka olwo abantu be bakulembera basobole okwenyumiriza mu buweereza bwabwe.
Bw'abadde alambula ggombolola zino mu Ssaza Gomba, Minisita wa gavumenti ez'Ebitundu okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ategeezezza nti ebimu ku bintu omwami wa Kabaka by'alina okukola okusitula omutindo kuliko; okuyambako abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okusomesa abaana, okutuuza enkiiko, okutambuza amawulire ku mikutu, okusitula ekitiibwa ky'embuga zaabwe, okuggulawo amakakkalabizo abantu basobole okufuna obuweereza, okunnyikiza emirimo gy'ebitongole by'e Ssaza, n'okunnyikiza emirimo gya Kabaka, okukubiriza abantu okuwayo oluwalo, okukola alipoota, n'okweyisa obulungi okusobola okuggyayo ekitiibwa ky'obwami.
Wabula Minisita Kawuki alaze ebimu ku bisuula obukulembeze okuli; obutakuuma biseera, okukuta, okulwanyisa bannaabwe, obwa nnakigwanyizi, okwekuza, okubulwa obwesimbu mu bigambo n'ebikolwa, obutali buwulize, okukozesa olulimi oluvoola n'obukumpanya.
Omwami w'Essaza Gomba, Kitunzi, Oweek Fred Williams Mugabi, asinzidde mu kulambula kuno n'asaba abakulembeze okuba obumu basobole okuweereza abantu nga tebatunuulidde bintu bibaawula naddala eby'obufuzi, eddiini ona amawanga.
Olunaku lw'e nkya Oweekitiibwa Kawuki asuubirwa okulambula ggombolola ya Ssaabagabo Kabulasoke ne Ssaabaddu Maddu.
Okulambula kuno kugendereddwamu okulondoola obukulembeze ku mitendera gyonna mu buweereza bw'Obwakabaka.
Abaami b'amasaza okuli; Mukwenda Oweek Deo Kagimu, Oweek Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu, Oweek Katambala Hajji Sulaiman Magala, bawerekeddeko Minisita Kawuki mu kulambula kuno.