BannaKyaddondo official

BannaKyaddondo official buganda

Happy New Year 2024 From this side
01/01/2024

Happy New Year 2024 From this side

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro ,Omuwanika era Minisita w’okuteekateeka ebyenfuna n’obusizi bw’Ensimbi  Oweek.Robert W...
16/11/2023

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro ,Omuwanika era Minisita w’okuteekateeka ebyenfuna n’obusizi bw’Ensimbi Oweek.Robert Waggwa Nsibirwa asabye abazadde okulekerawo okutiitibya abaana ab'obulenzi, wabula babagunjule nga bwekikolebwa ku mwana omuwala, nabo basobole okuyiga emirimu baggwemu obwassemugayaavu olwo eggwanga lijja kuba n'ebiseera by'omumaaso ebitangaavu

Ono okogera bino abaddde atikula oluwalo oluvudde mu Ggombolola 3 okuva mu saaza lye Kyaddondo okubadde Mumyuka Nakawa , Mituba esatu Makindye, Mituba mukagga Mukulu wa Kibuga Mengo Lubaga ezikiise mu bimuli bya Bulange mwe bsaleetedde obukadde obusobye 33

Oweek Nsibirwa Asabye abantu okwongera okwekuuma mukenenya n'okulaba ng'abaana bataasibwa naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula olugenda okuva oluwanvu ddala.

Ono yebaziza olw'oluwalo lwe baleese, ne yeebaza Abaami olw'omulimu ogw'amaanyi gwebakola okulambula abantu ba Kabaka era n'abasaba buli lwebabatuukirira okubatusaako amawulire agafa embuga ate n'okubafunako agafa ewaabwe, olwo lwebakiise embuga baloope buli nsonga.

Minisita owa Gavumenti ez’Ebitundu ,okulambula kwa Kabaka, n’Ensonga z’abantu ba Buganda ebweru Oweek. Joseph Kawuki, agamba nti abantu ba Beene bategedde nnyo omulamwa gw'okuzza Buganda ku ntikko, era nga kino kyeyolekera mu ngeri emirimu gye gitambuzibwamu mu Masaza, mu magombolola okwetolola Buganda, ate nga Kyaddondo bakolera ddala okwongera okwekuumira ku ntikko, bwatyo n'asaba Abaami okwongera mu amaanyi. Yeebazizza Abaami ba Kabaka ab'eggombolola olw'obujjumize n'okunnyikiza obuweereza mu bantu ba Kabaka.

Ssentebe w'Abavubuka mu saaza lye Kyaddondo Kasozi Lumunye Ronald ku lwa Kaggo, yeebaziza abantu olw'okujjumbira emirimu gya Ssaabasajja ku Ssaza, era n'abasaba okugenda mu maaso batyo. Nga munnamateeka asabye abantu okulwanirira ettaka lya Beene nga beewala okumala gateeka mikono ku biwandiiko byattaka nga bwekyeyokera mu misango egy'enjawulo mu kkooti.

Ate bo abaami be GGombolola okubadde Ssenfuma Timothy Basajjasuubi akulira e Ggombolola Ya Mumyuka Nakawa, saako Bakanogga Mukasa Samuel akulira Mituba mukagga Mukulu wa Kibuga Mengo Lubaga baloppedde katikkiro okusomozebwa kwe basanga nadaala ku ttaaka lyobwakabaka.

Mbeeraze Zacy Mawula, Meeya wa divizoni ya Lubaga aweeeze okulaba nga ennyanja ya kabaka ekumibwa butiribiri

Abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola omuli Mumyuka Nakawa, mukuluwakibuga mengo Lubaga, mituba essatu Makindye b agenda ...
16/11/2023

Abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola omuli Mumyuka Nakawa, mukuluwakibuga mengo Lubaga, mituba essatu Makindye b agenda okukiika embuga mu nkola ye Luwalo lwange

Abantu ba ssaabajja okuva mu maggombolola  okubadde musaale busukuuma,ssaabwali gombe,mituba ebiri nabweru, abayizi ba m...
14/11/2023

Abantu ba ssaabajja okuva mu maggombolola okubadde musaale busukuuma,ssaabwali gombe,mituba ebiri nabweru, abayizi ba masomero saako n’emituba etaano kawempe okuva mu saaza lye Kyaddondo olunaku lwa leero bakiise e mbuga mu bimuli bya bulange e Mmengo mwebaletedde oluwaalo.

Omwami wa Kabaka amukulembererako e Ggombolola ya Musaale Busukuuma Kawuki Robert asinzidde eno naloppera Katikkiro abasatuusi abasuse okwesenza ku taaka lyobwakabaka.

Omumyuka Owookubiri owa Kaggo, Dr. Phiona Kalinda Nakalinda, mu bubaka bwe, akubirizza abazadde, abasomesa n'abakulembeze, okwongera okubunyisa enjiri mi bavubuka ey'okwetangira akawuka ka mukenenya kubanga okunoonyereza kulaze nti mukenenya yeyongedde nnyo naddala mu bavubuka.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru wa Buganda, Oweek Joseph Kawuki, ategeezezza nti kirungi twenyumirize mu byaffe omuli Ebika, Amasaza, ebitundu byetubeeramu era Yebaziza abe Kyaddondo okutambulira ku bigambo bya Katikkiro ebijjayo ekitiibwa kya Buganda.

Katikkiro Charles peter Mayiga bwabadde atikkula oluwalo ategeezezza nti Abantu okujja ku Bulange kabonero akalaga nti obwakabaka buwanvuya emirandira era ne Namulondo enywera.

Ow’mu mbuga Agamba nti abakulembeze bwebasisinkana banogera ebizibu eddagala, omuli, ebbula ly'amazzi, ebyobulamu n'ebirala.

Mukuuma ddamula Yebaziza abaami ba Kabaka olwobunyiikivu mu kuddukanya emirimu gy'amagombolola nokumanya emirimu egyabakwasibwa.

Address

Kasangati
Wakiso

Opening Hours

Monday 09:00 - 17:00
Tuesday 06:00 - 06:00
Wednesday 06:00 - 18:00
Thursday 06:00 - 18:00
Friday 06:00 - 18:00
Saturday 06:00 - 18:00
Sunday 06:00 - 18:00

Telephone

+256704598855

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when BannaKyaddondo official posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Organization

Send a message to BannaKyaddondo official:

Share